Acts 15:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n'agamba Barunaba nti: “Gira tuddeyo, tulambule ku booluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo ky'Omukama, tulabe nga bwe bali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n'agamba Balunabba nti, “ Kale tuddeyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n'agamba Barunaba nti: “Tuddeyo tulambule abooluganda abali mu buli bibuga gye twategeeza abantu ekigambo kya Mukama, tulabe nga bwe bali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n'agamba Balunabba nti Kale tuddeyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali.