Acts 15:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wasitukawo obutakkaanya, ekyabaviirako okwawukana; Barunaba n'akwata Mariko n'awunguka n'agenda mu Kupuro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wabaawo empaka nnyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Makko n'awanika amatanga okugenda e Kupulo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawakana nnyo. Bwe baalemwa okukkiriziganya, kwe kwawukana, Barunaba n'agenda ne Mariko, ne basaabala ne balaga e Kipuro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wabaawo empaka nnyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Makko n'awanika amatanga okugenda e Kupulo;