Acts 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abamu ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo abaali bakkiriza, ne basituka, ne bagamba nti: “Nabo bateekwa okutayirirwa n'okukuutirwa okukwata amateeka ga Musa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti, “ Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abamu ku bakkiriza ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, ne basituka ne bagamba nti: “Ab'amawanga amalala bateekwa okukomolebwa n'okulagirwa okukwata Amateeka ga Musa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.