Acts 15:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'okukubaganya ennyo ebirowoozo, Petero n'ayimuka, n'abagamba nti: “Abasajja abooluganda, mumanyi nga mu nnaku ezaayita, Katonda yalonda mu mmwe, ab'amawanga bawulire ekigambo kya Katonda nga kiva mu kamwa kange, bakikkirize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe waali okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti, “Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'Enjiri ne bakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empaka bwe zaakalambira ennyo, Peetero n'asituka n'agamba nti: “Abooluganda, mumanyi nti mu nnaku ezaayita, Katonda yannonda mu mmwe, ntegeeze ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, balyoke bakkirize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe waali okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'enjiri ne bakkiriza.