Acts 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ajja e Derube n'e Lisitura. Waaliyo omuyigirizwa, erinnya lye Timotewo, mutabani w'omukazi Omuyudaaya eyali akkirizza naye kitaawe nga Mugereeki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pawulo n'atuuka e Derube ne Lusitula. Eyo waliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'omukazi Omuyudaaya omukkiriza, naye nga kitaawe Muyonaani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo n'atuuka e Derube n'e Lisitura. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoteewo, nga nnyina Muyudaaya omukkiriza mu Kristo, kyokka kitaawe nga Muyonaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'atuuka e Derube ne Lusitula: laba, yaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'omukazi Omuyudaaya eyakkiriza: naye kitaawe Muyonaani;