Acts 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okufuna okulabikirwa okwo, amangu ago ne tuteesa okugenda e Masedoniya, nga tutegedde nga Katonda y'atuyise okubayigiriza Evangili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangwago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira Enjiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okulabikirwa, amangwago ne tusala amagezi tugende e Makedooniya, nga tutegedde nti Katonda atuyise okutegeeza abaayo Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira enjiri.