Acts 16:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne tuva eyo ne tulaga e Filippi, ekibuga ekikulu mu ssaza ly'e Masedoniya, era ettwale ly'Abaroma. Mu kibuga kino twamalamu ennaku ntonotono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne tuvaayo okutuuka e Firipi, ekibuga ekikulu eky'e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twavaayo, ne tutuuka e Filippi, ekibuga ekikulu eky'e Makedooniya; ettwale ly'Abarooma. Ne tumalayo ennaku ntonotono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne tuvaayo okutuuka e Firipi, kye kibuga eky'e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku.