Acts 16:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lwa Sabbaato, ne tugenda ebweru w'omulyango gw'ekibuga, ku lubalama lw'omugga gye twalowooza nti gye beegayiririra, ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku lwa Sabbaato ne tufuluma mu kibuga, ne tugenda ku mabbali g'omugga, gye twalowooza nti eriyo ekifo gye basinziza Katonda. Ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana.