Acts 16:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi omu n'atuwulira, erinnya lye Lidiya, ng'ava mu kibuga ky'e Tiyatira; yali atunda engoye eza kakobe, ng'asinza Katonda. Omukama n'amwerula omutima ategereze Pawulo bye yali agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n'atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe n'asaayo omwoyo kw'ebyo Pawulo bye yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo, erinnya lye Lidiya, eyava mu kibuga Tiyatira, n'atuwuliriza. Yali mutunzi wa ngoye eza kakobe, era ng'assaamu Katonda ekitiibwa. Mukama n'aggula omutima gwe, n'akkiriza ebyo Pawulo bye yayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n’atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe okuwuliriza Pawulo bye yayogera.