Acts 16:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okubatizibwa awamu n'ennyumba ye, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Obanga mundabye nga ndi mwesigwa eri Omukama, muyingire mu nnyumba yange, mubeere omwo.” N'atuwaliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bwe yabatizibwa n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'atwegayirira ng'agamba nti, “ Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo.” N'atuwaliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'ab'omu nnyumba ye bwe baamala okubatizibwa, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Oba nga mulabye nti nzikiriza Mukama mu mazima, mujje mubeere ewange.” N'atukkirizisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yabatizibwa ye n'ennyumba ye, n'atwegayirira ng'agamba nti Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo. N'atuwaliriza.