Acts 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agoberera Pawulo naffe ng'ajja aleekaana ng'agamba nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Ali Waggulu Ddala, abababuulira ekkubo ery'okulokoka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala oyo n'atugoberera nga bw'awowoggana nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Atenkanika, ababategeeza nga bwe muyinza okulokolebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi.