Acts 16:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo n'akikolera ennaku nnyingi. Pawulo n'anyiiga, n'akebuka, n'agamba omwoyo nti: “Nkulagira mu linnya lya Yezu Kristu, mumaamukeko.” Ne gumumaamukako mu kaseera ako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti, “ Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo muveeko.” N'amuvaako mu kiseera ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo n'akiddiŋŋananga okumala ennaku nnyingi. Naye Pawulo bwe yanakuwala, n'akyuka n'agamba lubaale nti: “Mu linnya lya Yesu nkulagira, muveeko.” Amangwago lubaale n'amuvaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo omuveeko. N'amuvaako mu kiseera ekyo.