Acts 16:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannyini muwala bwe baalaba eribadde essuubi lyabwe ery'okufuna nga ligenze, ne bakwata Pawulo ne Sila, ne babawalaawala okubatwala mu mbuga eri abalamuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakama b'omuwala bwe baalaba ng'essuubi ery'okufuna ebintu liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siila, ne babawalaawala ne babatwala mu mbuga eri ab'obuyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu,