Acts 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okubateekako ebiwundu bingi, ne babasuula mu kkomera, ne balagira omukuumi w'ekkomera abakuume butiribiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindika mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okubakuba ennyo, ne babateeka mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindikira mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo: