Acts 16:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okukuutirwa atyo, n'abassa mu kkomera ery'omunda, amagulu gaabwe n'agasibira mu nvuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abateekera ddala mu kkomera ery'omunda, n'ebigere byabwe n'abissa mu nvuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi w'ekkomera bwe yamala okulagirwa, n'abateeka mu kkomera eryomunda, amagulu gaabwe n'agassa mu nvuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abasindiikiriza mu kkomera ery'omunda, n'akomerera ebigere byabwe mu nvuba.