Acts 16:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ttumbi, Pawulo ne Sila baali beegayirira nga batendereza Katonda mu nnyimba n'abasibe abalala nga babawuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali basaba, era nga bwe bayimbira Katonda, nga n'abasibe abalala bawuliriza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro nga mu ttumbi, Pawulo ne Siila ne beegayirira Katonda era ne bamutendereza mu nnyimba, n'abasibe abalala ne bawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda, abasibe ne babawulira;