Acts 16:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago ne wabaawo musisi ow'amaanyi, omwaliiro gw'ekkomera ne gukankana; era mangu ddala enzigi zonna ne zeggulawo, enjegere z'abasibe bonna ne zeeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amangwago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana. Amangwago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, ne kuyuuguumya ekkomera n'emisingi gyalyo. Awo enzigi z'ekkomera zonna ne zeggula, n'enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amangu ago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana: amangu ago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka.