Acts 16:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera zonna zeggudde, n'asowola ekitala kye; yali agenda kwetta, anti yali alowooza nti abasibe babombye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera nzigule, n'asowola ekitala kye yette, ng'alowooza nti abasibe babombye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye.