Acts 16:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'asaba emimuli, n'ayingira bunnambiro, n'agwa mu maaso ga Pawulo ne Sila ng'akankana era ng'atidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asaba ettaala, n'ayanguwa n'ayingira munda mu kkomera, n'agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira, ng'akankana,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukuumi w'ekkomera n'atumya ettaala, n'ayingira mangu, n'agwa kumpi n'ebigere bya Pawulo ne Siila nga bw'akankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asaba ettabaaza n'addukana n'ayingira, n'avuunamira Pawulo ne Siira, ng'akankana,