Acts 16:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'ayagala atambulenga naye; n'amuddira n'amutayirira olw'Abayudaaya abaali mu kifo ekyo, kubanga bonna baali bamanyi nga kitaawe Mugereeki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'ayagala okugenda ne Timoseewo, n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baali bamanyi nga kitaawe bw'ali Muyonaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'ayagala okugenda naye. Kyeyava amukomola, kubanga Abayudaaya abaali mu kitundu ekyo bonna, baali bamanyi nga kitaawe yali Muyonaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo Pawulo n'ayagala okugenda naye; n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baamumanya nga kitaawe yali Muyonaani.