Acts 16:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ssaawa eyo yennyini ey'ekiro, n'abatwala n'abanaaza ebiwundu byabwe, naye yennyini n'abatirizibwawo wamu n'ennyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiro ekyo kyennyini, omukuumi w'ekkomera n'abatwala, n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza emiggo; n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna amangu ago.