Acts 16:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okubatuusa ewuwe, n'abaleetera emmere, n'asanyuka wamu n'ennyumba ye yonna kubanga yali akkirizza Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abatwala mu nnyumba ye, n'abawa emmere, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo n'atwala Pawulo ne Siila mu nnyumba ye, n'abawa ebyokulya. N'asanyuka nnyo awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna, olw'okukkiriza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalinnyisa mu nnyumba ye, n'abaleetera emmeeza, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda.