Acts 16:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma abaserikale nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti, “Musumulule abantu abo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale baabwe mu kkomera, nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti Musumulule abantu abo.