Acts 16:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Pawulo n'abagamba nti: “Bamaze okutukubira mu lujjudde, ffe abatasingiddwa musango, ffe abasajja Abaroma, ne batukasuka mu kkomera, kati batuteera mu nkukutu? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggyemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo n'abagamba nti, “ Batukubidde mu maaso g'abantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli bantu Baruumi, ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Pawulo n'abagamba nti: “Baatukubidde mu lujjudde nga tetuwozezza na kuwoza, sso nga tuli Barooma. Ate kaakano batuta batya mu kyama? Nedda. Bo bennyini be baba bajja batute.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo n'abagamba nti Batukubidde mu maaso ga bantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli Bantu Baruumi ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye.