Acts 16:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi ne batya bwe baawulira nga Baroma,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi bwe baawulira nga Pawulo ne Siila Barooma, ne batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi: