Acts 16:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bajja ne babeetondera, ne babaggyamu, ne babeegayirira bave mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja ne babeetondera, ne babafulumya ebweru w'ekkomera ne babeegayirira bave mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga.