Acts 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baalinga bayitaayita mu bibuga, nga batuusa ku bantu ebyasalibwawo Abatume n'abakadde abaali e Yeruzaalemu babikwate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babakuutira okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bayita mu bibuga, nga bakuutira abakkiriza, okukwata ebyasalibwawo abatume n'abantu abakulu abaali mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali nga bayita mu bibuga ne babawa okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi.