Acts 16:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baava mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Lidiya. Bwe baamala okulaba ku booluganda, ne babagumya, ne bagenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babagumya ne bagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo ne Siila ne bava mu kkomera, ne bagenda ewa Lidiya. Bwe baamala okulaba abooluganda n'okubagumya, ne bavaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babasanyusa ne bavaayo.