Acts 16:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo Ekleziya ne zinywezebwa mu kukkiriza, buli lunaku nga zeeyongera omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ebibiina by'abakkiriza Kristo ne binywezebwa mu kukkiriza, era abantu ne babyegattangako buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.