Acts 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ne bayita mu kitundu ky'e Firugiya ne Galasiya, Mwoyo Mutuukirivu ng'amaze okubaziyiza okuyigiriza ekigambo ky'Omukama mu Aziya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pawulo ne banne ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayita mu kitundu ky'e Furigiya n'e Galatiya, nga Mwoyo Mutuukirivu abagaanyi okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Asiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya;