Acts 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro, Pawulo n'alabikirwa: omusajja ow'e Masedoniya yali ayimiridde awo ng'amulaajanira nti: “Jjangu eno e Masedoniya otuyambe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'afuna okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti, “Jjangu eno ewaffe e Makedoni otuyambe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro Pawulo n'alabikirwa, n'alaba omuntu ow'omu Makedooniya ng'ayimiridde amwegayirira nti: “Jjangu e Makedooniya otuyambe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'alaba okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe.