Acts 17:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okuyita mu Amfipoli ne mu Apolloniya, ne batuuka e Tessalonika awaali sinaagooga y'Abayudaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo batambula ne bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batambula, ne bayita mu Anfipoli ne mu Apolooniya, ne batuuka e Tessalonika, eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya: