Acts 17:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda amangu ago, ekiro ne basindika Pawulo ne Sila e Beroya. Bwe baatuuka eyo, ne bayingira mu sinaagooga y'Abayudaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago ab'oluganda ne basindika kiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwaziba, abooluganda ne basindika Pawulo ne Siila e Beroya. Bwe baatuuka eyo, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago ab'oluganda ne basindika ekiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.