Acts 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya bano bo baali ba kitiibwa okusinga ku b'e Tessalonika, anti bo ekigambo baakikwata n'okwagala kwonna, buli lunaku nga bawenja Ebiwandiiko ebitukuvu, okulaba obanga ebyo bwe biri bityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya b'omu Beroya baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baayo baali balungi okusinga ab'e Tessalonika, kubanga baayanguwa okukkiriza ekigambo kya Katonda, nga buli lunaku beekenneenya ebyawandiikibwa, okulaba oba nga Pawulo ne Siila bye boogera bituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bano baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.