Acts 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayudaaya ab'e Tessalonika bwe baamanya nga Pawulo era ayigiriza ekigambo kya Katonda e Beroya, nayo ne batuukayo, ne bajagalaza n'okutabangula ebibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo ne mu Beroya, era ne bagendayo ne batabangula ekibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayudaaya ab'e Tessalonika bwe baawulira nga Pawulo ategeezezza abantu ekigambo kya Katonda ne mu Beroya, ne bajjayo, ne bajagalaza era ne basasamaza abantu baayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo era mu Beroya, era ne bajjayo ne baweerera ebibiina ne babasasamaza.