Acts 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda ne basiibula mangu Pawulo okutuukira ddala ku nnyanja; naye Sila ne Timotewo bo ne basigalayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo amangwago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago abooluganda kwe kuweereza Pawulo ku lubalama, kyokka Siila ne Timoteewo bo ne basigala mu Beroya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda okutuuka ku nnyanja: Siira ne Timoseewo ne babeera eyo.