Acts 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali bawerekedde Pawulo ne bamutuusiza ddala mu Atena. Bwe yamala okubalagira okugamba Sila ne Timotewo bajje mangu gy'ali, ne basitula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaawerekera Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, ne bakomawo e Beroya ng'abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaawerekera Pawulo ne bamutuusa mu Ateene. Pawulo bwe yamala okubalagira nga Siila ne Timoteewo bwe basaana okujja gy'ali amangu, ne baddayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaawerekera Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okugamba Siira ne Timoseewo bajje gy'ali amangu nga bwe bayinza, ne bagenda.