Acts 17:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo ng'akyabalindirira mu Atena, omwoyo gwe ne gwevujjuula okulaba ng'ekibuga kyonna kijjudde ebifaananyi bya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kujjudde ebifaananyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo bwe yali mu Ateene ng'alindirira Siila ne Timoteewo, n'alaba ng'ekibuga kijjudde ebifaananyi bya balubaale, n'alumwa mu myoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kijjudde ebifaananyi.