Acts 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilozofa abaayitibwanga Abeepikuri n'Abastoyiki ne bawakananga naye; abamu ne bagamba nti: “Omukubi w'amatama ono ayagala kugamba ki nno?” Ko abalala nti: “Afaanana ng'omuyigiriza wa balubaale abagwira.” Anti yali abayigiriza Yezu n'okuzuukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti, “Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono?” Abamu ne bagamba nti, “ Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya,” kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakalimagezi abamu, abayitibwa Abeepikuro n'Abasitoyiki ne bawakananga naye. Abamu ne bagamba nti: “Ayagala kwogera ki ono ataliiko ky'amanyi?” Abalala ne bagamba nti: “Afaanana ng'ayigiriza ku balubaale abaggya.” Kyebaava boogera batyo, kubanga yali ayigiriza ku Yesu ne ku kuzuukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono? Abamu ne bagamba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya: kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.