Acts 17:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamukwata, ne bamutwala mu Areyopago, ne bagamba nti: “Enjigiriza eno empya gy'obuulira tuyinza okumanya bw'eri?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamutwala ne bamuleeta mu Aleyopaago nga bagamba nti, “ Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bamuyita n'ajja mu Arewopaago olukiiko olukulu, ne bagamba nti: “Oyinza okutubuulira ku kuyigiriza kuno okuggya kw'oyogerako?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bagamba nti Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?