Acts 17:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'ayingira ewaabwe, ng'empisa ye bwe yali, n'amala wiiki ssatu ng'abannyonnyola nga yeeyamba Ebiwandiiko ebitukuvu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, n'amala essabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, nga bwe yakolanga bulijjo. Ku Sabbaato essatu ezaddiriŋŋana n'awaanyisaganyanga ebirowoozo n'abantu, nga bw'ajuliza mu byawandiikibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, mu ssabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa,