Acts 17:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ab'e Atena n'abagwira abaalimu tebaalina kye bakola, wabula okwogera n'okuwuliriza ebiggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba kuwuliranga ekigambo ekiggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
(Ab'e Ateene n'abagenyi abaabangamu, tebaakolanga kintu kirala, wabula okwogera oba okuwuliriza ebirowoozo ebiggya.)
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba okuwuliranga ekigambo ekiggya.)