Acts 17:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Pawulo n'ayimirira wakati mu Areyopago, n'agamba nti: “Mmwe abasajja ab'e Atena, nga bwe ndaba mu buli ngeri muli bantu basomi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'ayimirira wakati mu Aleyopaago n'agamba nti: “Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo n'ayimirira mu Arewopaago, n'agamba nti: “Mmwe abasajja ab'e Ateene, ndaba nti mujjumbira nnyo eddiini,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'ayimirira wakati wa Aleyopaago n'agamba nti Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.