Acts 17:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era taweerezebwa na mikono gy'abantu, kyenkana ng'aliko kye yeetaaga, anti ye yawa bonna obulamu n'omukka era na buli kintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so taweerezebwa mikono gy'abantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era taliiko kye yeetaaga bantu kumuweereza, kubanga ye, ye abawa obulamu, n'okussa omukka, era ye abawa buli kintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;