Acts 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'ategeeza n'okukakasa nga Kristu bwe yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira mu bafu, n'abagamba nti: “Yezu oyo gwe mbayigiriza ye Kristu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'annyonnyola era ng'ategeeza nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti, “ Oyo Yesu nze gwe mbabuulira, ye Kristo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'annyonnyola era n'alaga nti: “Kristo yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira.” Era nti: “Yesu oyo gwe mbategeeza, ye Kristo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'abikkula ng'ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo.