Acts 17:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yassaawo olunaku lw'aliramulirako ensi yonna mu butuufu, nga yeeyamba omuntu gwe yassaawo, n'amukakasa mu bantu bonna ng'amuzuukiza mu bafu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga yateekawo olunaku, omuntu gwe yalonda, lw'agenda okusalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Yakakasa abantu bonna, bwe yazuukiza omuntu oyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.