Acts 17:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baawulira ku kuzuukira kw'abafu, abamu ne baseka, naye abalala ne bagamba nti: “Tulikuwulira olulala ku ekyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋŋoola; abalala ne bagamba nti, “ Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baawulira Pawulo ng'ayogera ku kuzuukira, abamu ne baŋŋoola, abalala ne bagamba nti: “Ekyo alikitubuulira olulala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋoola; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.