Acts 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne baddira abasajja abamu ababi mu bakireereese, ne beekuŋŋaanya ogubinja, ne basasamaza ekibuga, ne balumba ennyumba ya Yasoni, nga baagala babaggyeyo babaleete mu maaso g'ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya ne batandika akegugungo mu kibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni nga banoonyamu Pawulo ne Siira babatwale mu maaso g'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bafuna abantu ababi abaali mu katale, ne beekuŋŋaanya, ne basasamaza ekibuga. Ne balumba ennyumba ya Yasoni nga banoonya Pawulo ne Siila, babaleete mu lukiiko lw'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abayudaaya bwe baakwatibwa obuggya ne batwala abantu ababi ab'omu bakopi ne bakuŋŋaanyisa abantu ne basasamaza ekibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni ne baagala okubaleeta mu maaso g'abantu.