Acts 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bataabasanga mu nnyumba, ne bawalaawala Yasoni n'abooluganda abamu, ne babatwala mu maaso g'abakulu b'ekibuga, nga bayoogaana nti: “Bano abatabangudde ensi batuuse na wano,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu ne babatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti, “Bano abavuunika ensi bazze ne wano;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bataabasangamu, kwe kuwalaawala Yasoni n'abamu ku booluganda, ne babatwala eri abalamuzi, nga bwe baleekaana nti: “Abantu bano abaleeta emitawaana buli wantu, bazze ne wano,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti Bano abavuunika ensi bazze ne wano;