Acts 18:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo yali agenda okwasamya akamwa ati, Galliyo n'agamba Abayudaaya nti: “Singa ensonga eyo ebadde ku kweyisa obubi oba ku buzzi bwa misango, nandibawulirizza, mmwe Abayudaaya;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo bwe yali agenda okutandika okuwoza, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti, “ Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona kwonna, nanditeekeddwa okubagumiikiriza, mmwe Abayudaaya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Pawulo yali agenda okwogera, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti: “Singa wabaddewo ekisobyo oba omusango omunene, nandisobodde okubawuliriza mmwe Abayudaaya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo bwe yali agenda okwasama akamwa ke, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona okubi, mmwe Abayudaaya, nandibagumiikirizza: